Luke 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasirissa enjigiriza ye, n'agamba Simoni nti: “Twala mu buziba, musuule obutimba bwammwe mukwase.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti, “Sembera ebuziba, musuule obutimba bwammwe, muvube.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamaliriza okwogera, n'agamba Simooni nti: “Eryato lyongereyo ebuziba, mutege obutimba bwammwe, mukwase ebyennyanja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti Sembera ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube.