Luke 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simoni Petero bwe yalaba ekyo, n'agwa ku maviivi ga Yezu, n'amugamba nti: “Ndeka, ayi Mukama, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Simooni Peetero, bwe yalaba kino, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti, “ Ndeka; Mukama wange, kubanga ndi mwonoonyi ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simooni Peetero bwe yalaba kino, n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'agamba nti: “Ndeka Mukama wange, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Simooni Peetero, bwe yalaba, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi, Mukama wange.