Luke 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo olumu ku Sabbaato bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne bagenda nga banuula ebirimba by'eŋŋano, ne babikunya mu ngalo, ne balya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku ssabbiiti Yesu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya, nga babikunya mu ngalo zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu bwe yali ng'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano, abayigirizwa be ne banoga ku birimba, ne babikunya mu bibatu byabwe, ne balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku ssabbiiti bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya, nga bakunya mu ngalo zaabwe.