Luke 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be, n'alondamu kkumi na babiri, be yayita Abatume:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be; mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abayita abatume;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be. Mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abafuula abatume,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be; mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'okuyita n'abayita abatume;