Luke 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aserengeta nabo, n'ayimirira ku museetwe, wamu n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be, n'abantu abalala nkumu abaava mu Buyudaaya yonna n'e Yeruzaalemu, ne ku lubalama lw'ennyanja y'e Tiiro ne Sidoni, abaali bazze okumuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akka nabo, n'ayimirira awatereevu, awaali ekibiina ekinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n'e Yerusaalemi, n'abava ku ttale ly'ennyanja ey'e Ttuulo n'e Sidoni, abajja okumuwuliriza n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'aserengeta nabo, n'ayimirira mu kifo eky'omuseetwe, awaali wakuŋŋaanidde abayigirizwa be abangi n'abantu abalala bangi nnyo, abaava mu Buyudaaya bwonna ne mu kibuga Yerusaalemu, era ne mu kitundu eky'olubalama lw'ennyanja, ekirimu ebibuga Tiiro ne Sidoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'akka nabo, n'ayimirira awatereevu, n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n'e Yerusaalemi, n'abaava ku ttale ly'ennyanja ey'e Ttuulo n'e Sidoni, abajja okumuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe;