Luke 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna kyafubanga okumukwatako, kubanga amaanyi gaamuvangamu ne gawonya bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna baagezangako okumukwatako, kubanga obuyinza bwavanga mu ye ne buwonya bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna.