Luke 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'asitulira amaaso ge eri abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mwesiimye, mmwe abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayimusa amaaso ge n'atunulira abayigirizwa be n'agamba nti, “ Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atunuulira abayigirizwa be, n'agamba nti: “Muli ba mukisa abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimusiza amaaso abayigirizwa be n'agamba nti Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe.