Luke 6:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwesiimye, bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga, bwe banaasambajjanga erinnya lyammwe nga baliyita ebbi olw'okubeera Omwana w'Omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olw’Omwana w’Omuntu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muli ba mukisa abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga era bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'Omuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga erinnya lyammwe nga bbi, okubavunaanya Omwana w'omuntu.