Luke 6:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musanyukanga ku lunaku olwo ne mwebuukiza olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene; anti bajjajjaabwe bwe batyo bwe baakola abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musanyuke nga babayisizza bwe batyo, era mubuuke olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Bwe batyo ne bajjajjaabwe bwe baayisa abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi bwe batyo.