Luke 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, mmwe abakkufu kaakano, kubanga mulirumwa enjala. “Zibasanze, mmwe abaseka kaakano, kubanga muliwooba, mulikaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe kaakano abakkuse, muli ba kubonaabona, kubanga mulirumwa enjala. Mwe kaakano abaseka, muli ba kubonaabona kubanga mulinakuwala era mulikaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba.