Luke 6:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, abantu bonna bwe banaaboogerangako obulungi, kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga batyo abalanzi ab'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab'obulimba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muli ba kubonaabona mmwe, abantu bwe banaabatendanga, kubanga ne bajjajjaabwe bwe batyo bwe baatendanga abalanzi ab'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab'obulimba.