Luke 6:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga mwagala babaagala, ekinaabasiimisa kiruwa? Anti n'aboonoonyi baagala ababaagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa mwagala abo bokka ababaagala mmwe, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo baagala abo ababaagala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala.