Luke 6:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga mukolera bulungi ababakolera obulungi, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi bwe bakola batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi bakola bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa mukolera bulungi abo bokka ababakolera mmwe ebirungi, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo kye bakola!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibi bakola bwe batyo.