Luke 6:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga muwola abo bokka be musuubira okufunako, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, balyoke baddizibwe kyenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibi baazika bannaabwe abalina ebibi, balyoke basasulwe kye babazise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa muwola abo bokka be musuubira okubasasula, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, nga ba kusasulwa kyonna kye bawoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibi baazika abalina ebibi, era baweebwe bwe batyo.