Luke 6:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe mwagalenga ababakyaye; mukolerenga bulungi; muwolenga nga temulina kye musuubirayo, olwo empeera yammwe eriba nnene; mulibeera baana b'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga agirira ekisa entasiima n'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga nga temusuubira kubaddiza; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe, era mubakolerenga ebirungi. Muwolenga nga temusuubira kusasulwa. Olwo empeera yammwe eriba nnene, era muliba baana ba Katonda Atenkanika, kubanga ye wa kisa eri abatasiima n'ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi.