Luke 6:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugabenga, nammwe lwe muligabirwa; ekipimo ekituufu, ekikkaatiriziddwa, ne kisuukundwa, ne kibooga, balikibayiwa mu kikondoolo. Kubanga ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugabenga, nammwe muligabirwa. Bye mulifuna biribapimirwa mu kipimo ekituufu ekikkatiddwa, ne kisuukundibwa, ne kijjulira ddala ne kibooga. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, era kye kirikozesebwa okupimira mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.