Luke 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola Emigaati gy'Okwolesebwa, n'alya, n'awaako n'abo abaali naye, egyali gizira okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa ne be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bokka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayingira mu Nnyumba ya Katonda, n'atoola n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, era n'awaako n'abaali naye, sso nga kyali tekikkirizibwa emigaati egyo okuliibwako abantu abalala, wabula bakabona bokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, natoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bokka?