Luke 6:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuyigirizwa takira muyigiriza; wabula buli aba ayigiriziddwa obulungi afaanana n'omuyigiriza we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw'alituukirizibwa aliba ng'omuyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, wabula buli ayigirizibwa bw'amala okuyigirizibwa obulungi, aba ng'oyo amuyigirizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw'alituukirizibwa aliba ng'amuyigiriza.