Luke 6:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, kyokka n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza nialiiro eri ku liiso lyo ggwe?