Luke 6:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Muganda wange, ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga tolaba kisiki kiri mu liiso lyo? Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi, n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyinza otya okugamba muganda wo nti: ‘Muganda wange, leka nzigye akasubi ku liiso lyo’, sso nga ggwe wennyini tofa ku kisiki ekiri ku liryo? Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo.