Luke 6:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muti nno gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga entontogolo z'omukunyu tezinogebwa ku maggwa; n'emizabbibu teginogebwa ku kirobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo. Ebibala by'omutiini tebabinoga ku busaana, n'ebibala by'emizabbibu tebabinoga ku kawule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mwera nannyo.