Luke 6:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omulungi ku birungi by'aterese mu mutima gwe kw'aggya ebirungi; n'omuntu omubi ku bibi by'aterese kw'aggya ebibi; anti ku bijjudde mu mutima akamwa ke kwe kaggya bye koogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi, n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe, okukola ebibi. Ebijjula mu mutima gw'omuntu, akamwa ke bye koogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.