Luke 6:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Afaanana omuntu mu kuzimba ennyumba, eyasima n'akka wansi, omusingi n'agutandikira ku lwazi; omujjuzi bwe gwajja, mukoka n'akuluggukira ku nnyumba eyo, naye n'atayinza kugimenya, kubanga yazimbibwa bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba n'asima wansi nnyo, omusingi n'agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n'okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa ku lwazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ng'asimye omusingi, ne gukka nnyo wansi okutuuka ku lwazi. Omugga bwe gwajjula ne gwalaala, ne gukuluggukira awali ennyumba eyo, kyokka ne gutasobola kuginyeenya, kubanga yazimbibwa bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
afaanana ng'omuntu azimba ennyumba n'asima wansi nnyo, omusingi n'agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n'okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa bulungi.