Luke 6:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye buli awulira n'atassa mu nkola, afaanana omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimyewo musingi; mukoka bwe yagikuluggukirako, amangu ago n'egwa, n'ekigwo kyayo ne kiba kinene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n'atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n'egwa amangwago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kuba kunene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula omuntu awulira ebigambo byange n'atabikolerako, afaanana ng'omuntu eyazimba ku ttaka eryokungulu nga tasimye musingi. Omugga bwe gwakuluggukira w'eri, n'egwa amangwago, n'emenyekerawo ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n'atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n'ewa amangu ago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kuba kunene.