Luke 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawandiisi n'Abafarisaayo ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato, bafune ensonga okumuwaawabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abawandiisi n'Abafalisaayo ne bamulabiriza, oba ng'anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne beekaliriza Yesu amaaso, balabe oba ng'era anaawonya ku Sabbaato, balyoke bafune ensonga kwe banaasinziira okumuwawaabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abawandiisi n'Abafalisaayo ne bamulabirira, oba ng'anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa.