Luke 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Mbuuza, ku Sabbaato kisaanye kukolera bubi oba kukolera bulungi? Kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abagamba nti, “ Mbabuuza mmwe, Kiki ekikkirizibwa ku ssabbiiti? Kukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mbabuuza mmwe: kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abagamba nti Mbabuuza mmwe, Kirungi ku ssabbiiti okukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?