Luke 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala enjigiriza ye yonna eri abantu, n'ayingira mu Kafarunawumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okwogera ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abantu, n'ayingira mu Kaperunawumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamaliriza ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abamuwuliriza, n'ayingira mu kibuga Kafarunawumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okwogerera ebigambo bye byonna mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu.