Luke 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entiisa n'ekwata bonna, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Mu ffe musituseemu omulanzi omukulu, Katonda alambudde eggwanga lye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne batya ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti, “ Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bakwatibwa entiisa era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Omulanzi omukulu alabise mu ffe, era Katonda azze okulokola abantu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuti ne bubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.