Luke 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati eyo waaliyo Senturiyo eyalina omuddu we omu nga mulwadde ng'ajula kufa, sso nga yali muganzi gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo omwami w'ekitongole Omuruumi, omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali ng'alwadde ng'agenda kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, eyalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo. Omuddu oyo yali mulwadde, ng'ali kumpi okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo omwami w'ekitongole omuddu we gwe yali ayagala ennyo yali ng'alwadde ng'agenda kufa.