Luke 7:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanna Batista atutumye gy'oli ng'agamba nti: ‘Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abo bwe baatuuka gy'ali, ne bamugamba nti, “ Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abo bwe baatuuka awali Yesu, ne bagamba nti: “Yowanne Omubatiza atutumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu abo bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?