Luke 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna be yatuma bwe baamala okugenda, n'asooka okwogera eri ekibiina ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atandika okwogera n'ebibiina ebifa ku Yokaana nti, “ Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka ba Yowanne bwe bavaawo, Yesu n'atandika okutegeeza ekibiina ky'abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atanula okwogera n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?