Luke 7:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbagamba nti mu baali bazaaliddwa abakazi, mpaawo mulanzi akira Yowanna. Kyokka asinga obutene mu bwakabaka bwa Katonda amukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mbagamba nti mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga Yokaana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa, abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa ekitono mu Bwakabaka bwa Katonda, asinga Yowanne oyo ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbagamba nti Mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga ye.