Luke 7:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna n'abasolooza b'omusolo bwe baawulira, ne batendereza Katonda kubanga baali baabatiziddwa mu batismu ya Yowanna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna, n'abawooza bwe baawulira ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu, abo bonna abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasolooza b'omusolo n'abantu abalala bonna bwe baawuliriza ebigambo ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga bali babatizibwa Yowanne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu bonna bwe baawulira n'abawooza ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana.