Luke 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yawulira ebifa ku Yezu, n'atuma gy'ali abakadde b'Abayudaaya ng'amwegayirira ajje awonye omuddu we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'atuma ku bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'ekitongole ky'abaserikale bwe yawulira ebifa ku Yesu, n'amutumira abamu ku Bayudaaya abakulu, ng'amusaba ajje awonye omuddu we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu n'atuma bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we.