Luke 7:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abafarisaayo n'abakugu mu mateeka baagaana entegeka ya Katonda kubanga tebaamuganya kubabatiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaana okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka beggya ku nteekateeka ya Katonda, ne bagaana okubatizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaanira okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa ye.