Luke 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bali ng'abaana abato abatudde mu mbuga, bano nga balaamiriza bannaabwe nti: “ ‘Twabafuuyira endere, naye temwazina; twabakubira ebiwoobe, naye temwakaaba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti, “ ‘Bwe twabafuuyira omulere, temwazina, Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga, temwakungubaga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; ne bagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bafaanana ng'abaana abato, abatuula mu katale ne bakoowoolagana ne bagamba nti: ‘Twabafuuyidde endere, ne mutazina; twakubye ebiwoobe, ne mutakaaba.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; abagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga.