Luke 7:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Mulabe, omuntu ono wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Omuntu oyo wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi.