Luke 7:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu mu Bafarisaayo n'ayita Yezu okulya ewuwe. Ye n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo n'atuula okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omufalisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Omufarisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. Yesu n'agenda n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo oyo, n'atuula okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Omufalisaayo omu n'amuyita okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.