Luke 7:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukazi omwonoonyi ow'omu kibuga ekyo, bwe yawulira ng'atudde mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta akasumbi k'alabasiteri akalimu omuzigo ogw'akawoowo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya nga Yesu atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibuga ekyo mwalimu omukazi omwonoonyi. Omukazi oyo bwe yamanya nti Yesu atudde okulya mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta eccupa erimu omuzigo oguwunya akawoowo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya ng'atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,