Luke 7:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayimirira emabega we kumpi n'ebigere bye ng'akaaba, n'atandika okutobya ebigere bye n'amaziga ge, n'abisiimuuza enviiri ez'omutwe gwe, n'anywegera ebigere bye, n'abisiiga n'omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atandika okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisiimuula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abeera emabega, kumpi n'ebigere bya Yesu. N'akaaba era n'atandika okutobya ebigere bya Yesu n'amaziga, era n'abisiimuuza enviiri ez'oku mutwe gwe. N'abinywegera, era n'abisiiga omuzigo oguwunya akawoowo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atanula okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisangula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago.