Luke 7:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omufarisaayo eyamuyita, bwe yalaba, n'alowooza munda ye nti: “Singa ono abadde mulanzi, ggwe wamma yanditegedde ani era mukazi wa ngeri ki oyo amukwatako, kubanga mwonoonyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti, “ Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufarisaayo eyayita Yesu bwe yalaba kino, n'agamba mu mutima gwe nti: “Singa omusajja ono abadde mulanzi, yanditegedde omukazi amwekwatako bw'atyo bw'ali omwonoonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.