Luke 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka awali Yezu ne banyiikira okumusaba, ne bamugamba nti: “Asaanye okukolerwa ekyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti, “Omusajja oyo asaanidde ggwe okumukolera ekyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti: “Omusajja oyo asaanira omukolere ky'akusaba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe bajja eri Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti Asaanidde ggwe okumukolera ekyo;