Luke 7:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'amuddamu nti: “Simoni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira.” N'agamba nti, “ Omuyigiriza, yogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'amwatulira, n'agamba nti: “Simooni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira. N'agamba nti Omuyigiriza, yogera.