Luke 7:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuwozi omu yalina b'abanja babiri, omu yali abanjibwa dinaari ebikumi bitaano, n'omulala amakumi ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano (500), n'omulala ataano (50).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'atandika nti: “Waaliwo abantu babiri, abaali babanjibwa omuwozi w'ensimbi. Omu yali abanjibwa denaari ebikumi bitaano, ate omulala denaari amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano, n'omulala ataano.