Luke 7:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simoni nti: “Omukazi ono omulaba? Kale bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere; sso ng'oyo atobezza ebigere byange n'amaziga ge, n'abisiimuula n'enviiri ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti, “ Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnyumba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere, naye ono atobezza ebigere byange n'amaziga ge, era n'abisiimuuza enviiri ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnynmba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze.