Luke 7:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tewannywegedde; sso nga kaayingirira wano oyo tannata kunywegera bigere byange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tonywegedde ggwe, naye ono nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewannywegedde, naye ono okuviira ddala lwe nayingidde, tannalekayo kunywegera bigere byange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonnywegedde ggwe: naye ono we nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange.