Luke 7:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo, ka mbabuulire, asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Asonyiyibwa ebitono aba n'okwagala kutono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Kyokka asonyiyibwa ebitono, aba n'okwagala kutono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.