Luke 7:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali batudde naye okulya ne batandika okulowooza mu myoyo gyabwe nti: “Ono ani asonyiwa n'ebibi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaali batudde ku mmere naye ne batandika okwogera bokka na bokka nti, “ Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaali batudde ne Yesu nga balya ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ani asobola n'okusonyiwa abantu ebibi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaali batudde ku mmere naye ne batanula okwogera bokka na bokka nti Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?