Luke 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agenda nabo; yali esigadde ebbanga ttono okutuuka ku nnyumba, Senturiyo n'amutumira banne, n'amugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yesu n’agenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti, “ Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agenda nabo. Bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omukulu w'ekitongole oyo n'atuma banne okumugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanira ggwe okuyingira mu nnyumba yange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali nga tali wala n'ennyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange: