Luke 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole,’ ng'akikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akikola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akola.